Deuteronomy 34

Okufa kwa Musa mu nsi ya Mowaabu

1 aAwo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani, 2 bne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja ey’Ebugwanjuba, 3 cne Negebu n’olusenyi olw’ekiwonvu omuli Ekibuga ky’Enkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali. 4 dMukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyo y’ensi gye nalayirira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga ngibasuubiza nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’ Ngikulaze n’ogiraba n’amaaso go, naye tojja kusomoka kugituukamu.”

5 eAwo Musa, omuweereza wa Mukama, n’afiira awo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama Katonda bwe kyali. 6 fMukama n’aziika Musa mu nsi ya Mowaabu, mu kiwonvu ekyolekedde Besupyoli, naye tewali n’omu amanyi malaalo ge we gali ne ku lunaku lwa leero. 7 gMusa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; kyokka ng’amaaso ge galaba bulungi, era n’amaanyi ge nga tegakendeddeeko. 8 hAbaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ez’okukaaba n’okukungubagira Musa bwe zaggwaako.

9 iYoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.

10 jOkuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso n’amaaso. 11Tewaaliwo yamwenkana olw’obubonero n’ebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna, 12era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.

Copyright information for LugEEEE